Add parallel Print Page Options

10 (A)Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri[a] gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 25:10 Jjubiri kitegeeza buwanguzi

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

(A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
    ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
    era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

Read full chapter