Add parallel Print Page Options

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

Eddembe ly’Abaddu

(A)Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe.

Read full chapter

15 (A)Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange.

Read full chapter

17 (A)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi.

Read full chapter

19     (A)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”

Read full chapter

(A)Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”

Read full chapter