Add parallel Print Page Options

(A)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
    n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
    omwenkanya era omutereevu mu byonna.

Read full chapter

(A)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
    mwesigwa mu buli ky’akola.
(B)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
    Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

Read full chapter

11 (A)Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.”

Read full chapter

11 (A)Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
    otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 (B)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
    era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.

Read full chapter

20 (A)Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako.

Read full chapter

23 (A)Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.

Read full chapter