Add parallel Print Page Options

Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo

33 (A)Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. (B)Yagamba nti,

Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
    n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
    yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
    okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
(C)Mazima gw’oyagala abantu,
    abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.
Bavuunama wansi ku bigere byo
    ne bawulira ebiragiro by’obawa.
(D)Ge mateeka Musa ge yatuwa
    ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
    abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
    nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.

“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo
    n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”

(E)Kino kye yayogera ku Yuda:

“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;
    omuleete eri abantu be.
Yeerwaneko n’emikono gye.
    Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”

(F)Bino bye yayogera ku Leevi:

“Sumimu wo ne Ulimu wo
    biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.
Wamukebera e Masa
    n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(G)Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,
    ‘Abo sibafaako.’
Baganda be teyabategeeranga
    wadde okusembeza abaana be;
baalabiriranga ekigambo kyo
    ne bakuumanga endagaano yo.
10 (H)Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo
    ne Isirayiri amateeka go.
Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,
    n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
11 (I)Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,
    era okkirize emirimu gy’emikono gye.
Okubirenga ddala abo abamugolokokerako
    okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”

12 (J)Bye yayogera ku Benyamini:

“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,
    Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,
    omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”

13 (K)Yayogera bw’ati ku Yusufu:

“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,
    n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu
    n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,
    n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
15 (L)n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,
    n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
16 (M)n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,
    n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.
Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,
    mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
17 (N)Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
    amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
    n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
    nga ze nkumi za Manase.”

18 (O)Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:

“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;
    ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
19 (P)Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi
    ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,
banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,
    nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”

20 (Q)Yayogera bw’ati ku Gaadi:

“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,
    Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma
    ng’ayuza omukono n’omutwe.
21 (R)Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,
    omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.
Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
    ye yabasalira emisango gya Mukama,
    n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”

22 (S)Yayogera bw’ati ku Ddaani:

“Ddaani mwana gwa mpologoma,
    ogubuuka nga guva mu Basani.”

23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali:

“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda
    era ng’ojjudde emikisa gye,
    onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”

24 (T)Yayogera bw’ati ku Aseri:

“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,
    ku baganda be gwe babanga basinga okwagala
    era emizabbibu[a] gigimuke nnyo mu ttaka lye.
25 (U)Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo
    n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.

26 (V)“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
    eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
    ne ku bire mu kitiibwa kye.
27 (W)Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
    era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
    n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
28 (X)Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,
    ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,
mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,
    eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
29 (Y)Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
    Ani akufaanana,
    ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
    era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
    era onoobalinnyiriranga.”

Footnotes

  1. 33:24 Waabangawo amafuta agaggibwanga mu mizabbibu, era amafuta ago kaali kabonero akalaga obugagga.

Moses Blesses the Tribes(A)

33 This is the blessing(B) that Moses the man of God(C) pronounced on the Israelites before his death. He said:

“The Lord came from Sinai(D)
    and dawned over them from Seir;(E)
    he shone forth(F) from Mount Paran.(G)
He came with[a] myriads of holy ones(H)
    from the south, from his mountain slopes.[b]
Surely it is you who love(I) the people;
    all the holy ones are in your hand.(J)
At your feet they all bow down,(K)
    and from you receive instruction,
the law that Moses gave us,(L)
    the possession of the assembly of Jacob.(M)
He was king(N) over Jeshurun[c](O)
    when the leaders of the people assembled,
    along with the tribes of Israel.

“Let Reuben live and not die,
    nor[d] his people be few.”(P)

And this he said about Judah:(Q)

“Hear, Lord, the cry of Judah;
    bring him to his people.
With his own hands he defends his cause.
    Oh, be his help against his foes!”

About Levi(R) he said:

“Your Thummim and Urim(S) belong
    to your faithful servant.(T)
You tested(U) him at Massah;
    you contended with him at the waters of Meribah.(V)
He said of his father and mother,(W)
    ‘I have no regard for them.’
He did not recognize his brothers
    or acknowledge his own children,
but he watched over your word
    and guarded your covenant.(X)
10 He teaches(Y) your precepts to Jacob
    and your law to Israel.(Z)
He offers incense before you(AA)
    and whole burnt offerings on your altar.(AB)
11 Bless all his skills, Lord,
    and be pleased with the work of his hands.(AC)
Strike down those who rise against him,
    his foes till they rise no more.”

12 About Benjamin(AD) he said:

“Let the beloved of the Lord rest secure in him,(AE)
    for he shields him all day long,(AF)
    and the one the Lord loves(AG) rests between his shoulders.(AH)

13 About Joseph(AI) he said:

“May the Lord bless his land
    with the precious dew from heaven above
    and with the deep waters that lie below;(AJ)
14 with the best the sun brings forth
    and the finest the moon can yield;
15 with the choicest gifts of the ancient mountains(AK)
    and the fruitfulness of the everlasting hills;
16 with the best gifts of the earth and its fullness
    and the favor of him who dwelt in the burning bush.(AL)
Let all these rest on the head of Joseph,
    on the brow of the prince among[e] his brothers.(AM)
17 In majesty he is like a firstborn bull;
    his horns(AN) are the horns of a wild ox.(AO)
With them he will gore(AP) the nations,
    even those at the ends of the earth.
Such are the ten thousands of Ephraim;(AQ)
    such are the thousands of Manasseh.(AR)

18 About Zebulun(AS) he said:

“Rejoice, Zebulun, in your going out,
    and you, Issachar,(AT) in your tents.
19 They will summon peoples to the mountain(AU)
    and there offer the sacrifices of the righteous;(AV)
they will feast on the abundance of the seas,(AW)
    on the treasures hidden in the sand.”

20 About Gad(AX) he said:

“Blessed is he who enlarges Gad’s domain!(AY)
    Gad lives there like a lion,
    tearing at arm or head.
21 He chose the best land for himself;(AZ)
    the leader’s portion was kept for him.(BA)
When the heads of the people assembled,
    he carried out the Lord’s righteous will,(BB)
    and his judgments concerning Israel.”

22 About Dan(BC) he said:

“Dan is a lion’s cub,
    springing out of Bashan.”

23 About Naphtali(BD) he said:

“Naphtali is abounding with the favor of the Lord
    and is full of his blessing;
    he will inherit southward to the lake.”

24 About Asher(BE) he said:

“Most blessed of sons is Asher;
    let him be favored by his brothers,
    and let him bathe his feet in oil.(BF)
25 The bolts of your gates will be iron and bronze,(BG)
    and your strength will equal your days.(BH)

26 “There is no one like the God of Jeshurun,(BI)
    who rides(BJ) across the heavens to help you(BK)
    and on the clouds(BL) in his majesty.(BM)
27 The eternal(BN) God is your refuge,(BO)
    and underneath are the everlasting(BP) arms.
He will drive out your enemies before you,(BQ)
    saying, ‘Destroy them!’(BR)
28 So Israel will live in safety;(BS)
    Jacob will dwell[f] secure
in a land of grain and new wine,
    where the heavens drop dew.(BT)
29 Blessed are you, Israel!(BU)
    Who is like you,(BV)
    a people saved by the Lord?(BW)
He is your shield and helper(BX)
    and your glorious sword.
Your enemies will cower before you,
    and you will tread on their heights.(BY)

Footnotes

  1. Deuteronomy 33:2 Or from
  2. Deuteronomy 33:2 The meaning of the Hebrew for this phrase is uncertain.
  3. Deuteronomy 33:5 Jeshurun means the upright one, that is, Israel; also in verse 26.
  4. Deuteronomy 33:6 Or but let
  5. Deuteronomy 33:16 Or of the one separated from
  6. Deuteronomy 33:28 Septuagint; Hebrew Jacob’s spring is