Add parallel Print Page Options

(A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda. 10 (B)Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika.

Read full chapter

10 (A)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
    ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
    tebamanyi kukola kituufu.”

Read full chapter

(A)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

(B)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
(C)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

Read full chapter