Add parallel Print Page Options

Kuulo Ayamba Abawaŋŋanguse okuddayo

(A)Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,

(B)“Bw’ati bw’ayogera Kuulo[a] kabaka w’e Buperusi nti,

“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi. (C)Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”

(D)Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi[b]. Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde. (E)Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo. (F)Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.

Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:

Esowaani eza zaabu amakumi asatu30,
Esowaani eza ffeeza lukumi1,000,
Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda29,
10 Ebibya ebya zaabu amakumi asatu30,
n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi410,
n’ebintu ebirala lukumi1,000.

11 Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400).

Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.

Footnotes

  1. 1:2 Kuulo Obwakabaka bwa Kuulo bwavanga mu Buyindi ne butuuka ku Misiri, n’okuva ku Nnyanja Emyufu mu guyanja gw’e Buperusi okutuuka mu Esiyopya.
  2. 1:5 Olugendo lwali wakati wa kilomita 900 ne kilomita 1,000, nga lwa myezi ebiri oba esatu

Cyrus Helps the Exiles to Return(A)

In the first year of Cyrus king of Persia, in order to fulfill the word of the Lord spoken by Jeremiah,(B) the Lord moved the heart(C) of Cyrus king of Persia to make a proclamation throughout his realm and also to put it in writing:

“This is what Cyrus king of Persia says:

“‘The Lord, the God of heaven, has given me all the kingdoms of the earth and he has appointed(D) me to build(E) a temple for him at Jerusalem in Judah. Any of his people among you may go up to Jerusalem in Judah and build the temple of the Lord, the God of Israel, the God who is in Jerusalem, and may their God be with them. And in any locality where survivors(F) may now be living, the people are to provide them with silver and gold,(G) with goods and livestock, and with freewill offerings(H) for the temple of God(I) in Jerusalem.’”(J)

Then the family heads of Judah and Benjamin,(K) and the priests and Levites—everyone whose heart God had moved(L)—prepared to go up and build the house(M) of the Lord in Jerusalem. All their neighbors assisted them with articles of silver and gold,(N) with goods and livestock, and with valuable gifts, in addition to all the freewill offerings.

Moreover, King Cyrus brought out the articles belonging to the temple of the Lord, which Nebuchadnezzar had carried away from Jerusalem and had placed in the temple of his god.[a](O) Cyrus king of Persia had them brought by Mithredath the treasurer, who counted them out to Sheshbazzar(P) the prince of Judah.

This was the inventory:

gold dishes30
silver dishes1,000
silver pans[b]29
10 gold bowls30
matching silver bowls410
other articles1,000

11 In all, there were 5,400 articles of gold and of silver. Sheshbazzar brought all these along with the exiles when they came up from Babylon to Jerusalem.

Footnotes

  1. Ezra 1:7 Or gods
  2. Ezra 1:9 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.