Add parallel Print Page Options

Okununulibwa kwa Isirayiri

27 (A)Mu biro ebyo,

Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,
    ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,
alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,
    Lukwata omusota ogwezinga,
atte n’ogusota gw’ennyanja.

Read full chapter

24 (A)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
    ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
    era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,

Read full chapter

28 (A)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
    Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
    tewali n’omu addamu bwe mbuuza.

Read full chapter

(A)Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
    mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.
Kubanga bwe nayita,
    teri n’omu yayanukula,
bwe nnaayogera
    tebanfaako.
Bakola ebibi mu maaso gange
    ne bagoberera ebitansanyusa.”

Read full chapter

Okugwa kwa Yerusaalemi

15 (A)Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera. 16 (B)Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.

Read full chapter

13 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba.

Read full chapter