Add parallel Print Page Options

(A)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
    era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
    balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (B)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (C)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
    N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
    Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.

Read full chapter

(A)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
    batema omuti mu kibira,
    omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
(B)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
    bagukomerera n’enninga n’ennyondo
    guleme okunyeenyanyeenya.
(C)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
    mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
    kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
    tebayinza kukukola kabi konna,
    wadde okukola akalungi n’akamu.”

(D)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
    Oli mukulu,
    era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
(E)Ani ataakutye,
    Ayi Kabaka w’amawanga?
    Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
    ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
    tewali ali nga ggwe.
(F)Bonna tebalina magezi basirusiru,
    abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
(G)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
    ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
    byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
    Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (H)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
    era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
    amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Read full chapter

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.

Read full chapter

29 (A)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.

Read full chapter