Add parallel Print Page Options

45 (A)Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.

Read full chapter

34 (A)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.

Read full chapter

21 (A)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.

Read full chapter

22 (A)n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”

Read full chapter

44 (A)“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.”

Read full chapter

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31 (A)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (B)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (C)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

Read full chapter

37 (A)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”

Read full chapter

27 (A)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

Read full chapter

(A)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(B)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(C)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(D)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(E)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(F)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(G)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(H)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (I)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (J)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Ya Dawudi.

16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
    kubanga ggwe buddukiro bwange.

(B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
    ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
(C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
    era mu bo mwe nsanyukira.
(D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
    yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
    wadde okusinza bakatonda baabwe.

(E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
    era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
(F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
    ddala ddala omugabo omulungi.

(G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
    ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
(H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
    era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    siinyeenyezebwenga.

(I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
    era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
    wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
    w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
    era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

Footnotes

  1. 16:4 Ssaddaaka ez’omusaayi zaaweebwangayo mu kusinza balubaale, era yali mpisa y’abo abaasinzanga balubaale. Empisa eyo, omuwandiisi wa Zabbuli gyavumirira

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
    Lwaki ogaana okunnyamba
    wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
(B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
    n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.

(C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
    era ettendo lya Isirayiri yonna.
Bajjajjaffe baakwesiganga;
    baakwesiga naawe n’obawonya.
(D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
    era baakwesiganga ne batajulirira.

(E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
    abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
(F)Bonna abandaba banduulira,
    era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
(G)“Yeesiga Mukama;
    kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
    kale nno amulokole!”

(H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
    era wampa okukwesiga
    ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
    olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.

11 (J)Tobeera wala nange,
    kubanga emitawaana ginsemberedde,
    ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.

12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
    zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
    ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
    n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
    era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
    n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
    Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.

16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
    banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
    banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
    Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
    era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
    Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
    obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
    omponye amayembe g’embogo enkambwe.

22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
    nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
    Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
    era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
    kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
    wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
    Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
    abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
    Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

27 (Y)Ensi zonna zirijjukira
    ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
    birimuvuunamira.
28 (Z)Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
    era y’afuga amawanga gonna.

29 (AA)Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
    Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
    abatakyali balamu.
30 (AB)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
    abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 (AC)N’abo abatannazaalibwa
    balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
    “Ekyo yakikoze.”

Footnotes

  1. 22:12 Basani kyali kifo ekyali ku luuyi olw’obukiikakkono obw’ebuvanjuba, era kyali kimanyiddwa olw’ente zisseddume ez’amaanyi ate nga nsava.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
    kubanga amazzi gandi mu bulago.
(B)Ntubira mu bitosi
    nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
    n’amataba gansaanikira.
(C)Ndajanye ne nkoowa,
    n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
    olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
(D)Abo abankyayira obwereere
    bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
    abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
    ekyo kye sibbanga.

(E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
    n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

Sisaana kuswaza
    abo abakwesiga,
    Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
    baleme kuswazibwa ku lwange,
    Ayi Katonda wa Isirayiri.
(F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
    era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
    era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
    n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
    era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
    n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
    obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
    waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
    ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
    era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
    baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
    obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
    nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
    oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
    mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
    era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
    awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
    n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36     (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
    n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Footnotes

  1. 72:8 Kyalowoozebwanga nti ensi yakomanga ku Nnyanja ey’Omunnyo okumpi n’Ennyanja Ennene, eya Meditereniyaani.
  2. 72:8 Omugga Fulaati gwe gwali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Isirayiri, mu bufuzi bwa Sulemaani. Kyali kyasuubizibwa Abayisirayiri mu biro eby’okuva mu Misiri.
  3. 72:10 Talusiisi kyali mu Esupaniya, era eyo ye yalowoozebwa okuba enkomerero y’ensi.
  4. 72:10 Syeba kiri mu Buwalabu, ate Seeba kiri mu Afirika.

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Footnotes

  1. 110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(E)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(F)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(G)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.