Add parallel Print Page Options

13 (A)Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu,

Read full chapter

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

18 (A)Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro[a] ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe,

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri (1Sa 4:1-11) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni (1By 21:29).

12 (A)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri.

Read full chapter

54 (A)Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

Read full chapter

51 (A)Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.

Read full chapter