Add parallel Print Page Options

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

38 (A)“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu.

Read full chapter

(A)Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku.

Read full chapter

Ebiweebwayo eby’oku Ssabbiiti

(A)“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni.

Read full chapter

Amateeka ku Mbaga Enkulu Essatu eza Buli Mwaka

14 (A)“Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.

Read full chapter

16 (A)Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama.

Read full chapter

16 (A)“Onookolanga Embaga ey’Amakungula[a] ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo.

“Onookolanga Embaga ey’Amayingiza[b] buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.

Read full chapter

Footnotes

  1. 23:16 Embaga ey’Amakungula y’emu yeeyitibwa Embaga eya Wiiki (34:22) kubanga Embaga ey’Amakungula yabangawo oluvannyuma lw’Embaga ey’Okuyitako, ng’okukungula kwa kaggwa
  2. 23:16 Embaga ey’Amayingiza yabangawo ng’okukungula kwa kaggwa.