Add parallel Print Page Options

Okunoonyeza Isaaka Omukazi

24 (A)Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. (B)Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange[a] (C)ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera, (D)wabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”

Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. (E)Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.” (F)Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.

10 Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli. 11 (G)Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.

12 (H)N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. 13 Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. 14 (I)Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”

Lebbeeka ku Luzzi

15 (J)Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 16 (K)Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.

17 Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”

18 (L)N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.

19 (M)Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” 20 Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna, 21 (N)omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.

22 (O)Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike. 23 N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” 24 (P)N’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.” 25 N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.”

26 (Q)Awo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza Mukama. 27 (R)N’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.” 28 Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna. 29 (S)Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30 Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 31 (T)Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”

32 (U)Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere. 33 Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.”

Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”

Omuddu Annyonnyola Ekyamutwala

34 Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 35 (V)Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 36 (W)Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 37 (X)Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 38 (Y)Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’

39 (Z)“Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’

40 (AA)“Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. 41 (AB)Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’

42 (AC)“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 43 (AD)laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44 n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’

45 (AE)“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’

46 (AF)“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’

47 (AG)“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 48 (AH)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 49 (AI)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”

Lebbeeka Agenda n’Omuddu

50 (AJ)Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. 51 Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”

52 (AK)Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama. 53 (AL)N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 54 (AM)Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.

Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”

55 Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”

56 Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” 57 Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.” 58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”

59 (AN)Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 60 (AO)Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,

“Mwannyinaffe beera nnyina
    w’enkumi n’enkumi,
abaana n’abazzukulu bo balyenga
    ebibuga by’abalabe baabwe.”

61 Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.

Isaaka ne Lebbeeka Bafumbiriganwa

62 (AP)Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 63 (AQ)Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64 Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65 n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”

Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.

66 Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 67 (AR)Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.[b]

Footnotes

  1. 24:2 wansi w’ekisambi kyange amakulu nti ekirayiro ekyo kyali kitwaliramu ne bazzukulu ba Ibulayimu.
  2. 24:67 Waali wayiseewo emyaka esatu nga Saala afudde (17:17; 23:1; 25:20).

Isaac and Rebekah

24 Abraham was now very old,(A) and the Lord had blessed(B) him in every way.(C) He said to the senior servant(D) in his household, the one in charge of all that he had,(E) “Put your hand under my thigh.(F) I want you to swear(G) by the Lord, the God of heaven(H) and the God of earth,(I) that you will not get a wife for my son(J) from the daughters of the Canaanites,(K) among whom I am living,(L) but will go to my country and my own relatives(M) and get a wife for my son Isaac.(N)

The servant asked him, “What if the woman is unwilling to come back with me to this land?(O) Shall I then take your son back to the country you came from?(P)

“Make sure that you do not take my son back there,”(Q) Abraham said. “The Lord, the God of heaven,(R) who brought me out of my father’s household and my native land(S) and who spoke to me and promised me on oath, saying, ‘To your offspring[a](T) I will give this land’(U)—he will send his angel before you(V) so that you can get a wife for my son from there. If the woman is unwilling to come back with you, then you will be released from this oath(W) of mine. Only do not take my son back there.”(X) So the servant put his hand under the thigh(Y) of his master(Z) Abraham and swore an oath to him concerning this matter.

10 Then the servant left, taking with him ten of his master’s camels(AA) loaded with all kinds of good things(AB) from his master. He set out for Aram Naharaim[b](AC) and made his way to the town of Nahor.(AD) 11 He had the camels kneel down near the well(AE) outside the town; it was toward evening, the time the women go out to draw water.(AF)

12 Then he prayed, “Lord, God of my master Abraham,(AG) make me successful(AH) today, and show kindness(AI) to my master Abraham. 13 See, I am standing beside this spring, and the daughters of the townspeople are coming out to draw water.(AJ) 14 May it be that when I say to a young woman, ‘Please let down your jar that I may have a drink,’ and she says, ‘Drink,(AK) and I’ll water your camels too’(AL)—let her be the one you have chosen for your servant Isaac.(AM) By this I will know(AN) that you have shown kindness to my master.”

15 Before he had finished praying,(AO) Rebekah(AP) came out with her jar on her shoulder. She was the daughter of Bethuel(AQ) son of Milkah,(AR) who was the wife of Abraham’s brother Nahor.(AS) 16 The woman was very beautiful,(AT) a virgin;(AU) no man had ever slept with her. She went down to the spring, filled her jar and came up again.

17 The servant hurried to meet her and said, “Please give me a little water from your jar.”(AV)

18 “Drink,(AW) my lord,” she said, and quickly lowered the jar to her hands and gave him a drink.

19 After she had given him a drink, she said, “I’ll draw water for your camels(AX) too,(AY) until they have had enough to drink.” 20 So she quickly emptied her jar into the trough, ran back to the well to draw more water, and drew enough for all his camels.(AZ) 21 Without saying a word, the man watched her closely to learn whether or not the Lord had made his journey successful.(BA)

22 When the camels had finished drinking, the man took out a gold nose ring(BB) weighing a beka[c] and two gold bracelets(BC) weighing ten shekels.[d] 23 Then he asked, “Whose daughter are you?(BD) Please tell me, is there room in your father’s house for us to spend the night?(BE)

24 She answered him, “I am the daughter of Bethuel, the son that Milkah bore to Nahor.(BF) 25 And she added, “We have plenty of straw and fodder,(BG) as well as room for you to spend the night.”

26 Then the man bowed down and worshiped the Lord,(BH) 27 saying, “Praise be to the Lord,(BI) the God of my master Abraham,(BJ) who has not abandoned his kindness and faithfulness(BK) to my master. As for me, the Lord has led me on the journey(BL) to the house of my master’s relatives.”(BM)

28 The young woman ran and told her mother’s household about these things.(BN) 29 Now Rebekah had a brother named Laban,(BO) and he hurried out to the man at the spring. 30 As soon as he had seen the nose ring, and the bracelets on his sister’s arms,(BP) and had heard Rebekah tell what the man said to her, he went out to the man and found him standing by the camels near the spring. 31 “Come, you who are blessed by the Lord,”(BQ) he said. “Why are you standing out here? I have prepared the house and a place for the camels.”

32 So the man went to the house, and the camels were unloaded. Straw and fodder(BR) were brought for the camels, and water for him and his men to wash their feet.(BS) 33 Then food was set before him, but he said, “I will not eat until I have told you what I have to say.”

“Then tell us,” Laban said.

34 So he said, “I am Abraham’s servant.(BT) 35 The Lord has blessed(BU) my master abundantly,(BV) and he has become wealthy.(BW) He has given him sheep and cattle, silver and gold, male and female servants, and camels and donkeys.(BX) 36 My master’s wife Sarah has borne him a son in her old age,(BY) and he has given him everything he owns.(BZ) 37 And my master made me swear an oath,(CA) and said, ‘You must not get a wife for my son from the daughters of the Canaanites, in whose land I live,(CB) 38 but go to my father’s family and to my own clan, and get a wife for my son.’(CC)

39 “Then I asked my master, ‘What if the woman will not come back with me?’(CD)

40 “He replied, ‘The Lord, before whom I have walked faithfully,(CE) will send his angel with you(CF) and make your journey a success,(CG) so that you can get a wife for my son from my own clan and from my father’s family.(CH) 41 You will be released from my oath if, when you go to my clan, they refuse to give her to you—then you will be released from my oath.’(CI)

42 “When I came to the spring today, I said, ‘Lord, God of my master Abraham, if you will, please grant success(CJ) to the journey on which I have come. 43 See, I am standing beside this spring.(CK) If a young woman(CL) comes out to draw water and I say to her, “Please let me drink a little water from your jar,”(CM) 44 and if she says to me, “Drink, and I’ll draw water for your camels too,” let her be the one the Lord has chosen for my master’s son.’(CN)

45 “Before I finished praying in my heart,(CO) Rebekah came out, with her jar on her shoulder.(CP) She went down to the spring and drew water, and I said to her, ‘Please give me a drink.’(CQ)

46 “She quickly lowered her jar from her shoulder and said, ‘Drink, and I’ll water your camels too.’(CR) So I drank, and she watered the camels also.(CS)

47 “I asked her, ‘Whose daughter are you?’(CT)

“She said, ‘The daughter of Bethuel(CU) son of Nahor, whom Milkah bore to him.’(CV)

“Then I put the ring in her nose(CW) and the bracelets on her arms,(CX) 48 and I bowed down and worshiped the Lord.(CY) I praised the Lord, the God of my master Abraham,(CZ) who had led me on the right road to get the granddaughter of my master’s brother for his son.(DA) 49 Now if you will show kindness and faithfulness(DB) to my master, tell me; and if not, tell me, so I may know which way to turn.”

50 Laban and Bethuel(DC) answered, “This is from the Lord;(DD) we can say nothing to you one way or the other.(DE) 51 Here is Rebekah; take her and go, and let her become the wife of your master’s son, as the Lord has directed.(DF)

52 When Abraham’s servant heard what they said, he bowed down to the ground before the Lord.(DG) 53 Then the servant brought out gold and silver jewelry and articles of clothing(DH) and gave them to Rebekah; he also gave costly gifts(DI) to her brother and to her mother. 54 Then he and the men who were with him ate and drank and spent the night there.

When they got up the next morning, he said, “Send me on my way(DJ) to my master.”

55 But her brother and her mother replied, “Let the young woman remain with us ten days or so;(DK) then you[e] may go.”

56 But he said to them, “Do not detain me, now that the Lord has granted success(DL) to my journey. Send me on my way(DM) so I may go to my master.”

57 Then they said, “Let’s call the young woman and ask her about it.”(DN) 58 So they called Rebekah and asked her, “Will you go with this man?”

“I will go,”(DO) she said.

59 So they sent their sister Rebekah on her way,(DP) along with her nurse(DQ) and Abraham’s servant and his men. 60 And they blessed(DR) Rebekah and said to her,

“Our sister, may you increase
    to thousands upon thousands;(DS)
may your offspring possess
    the cities of their enemies.”(DT)

61 Then Rebekah and her attendants(DU) got ready and mounted the camels and went back with the man. So the servant took Rebekah and left.

62 Now Isaac had come from Beer Lahai Roi,(DV) for he was living in the Negev.(DW) 63 He went out to the field one evening to meditate,[f](DX) and as he looked up,(DY) he saw camels approaching. 64 Rebekah also looked up and saw Isaac. She got down from her camel(DZ) 65 and asked the servant, “Who is that man in the field coming to meet us?”

“He is my master,” the servant answered. So she took her veil(EA) and covered herself.

66 Then the servant told Isaac all he had done. 67 Isaac brought her into the tent(EB) of his mother Sarah,(EC) and he married Rebekah.(ED) So she became his wife, and he loved her;(EE) and Isaac was comforted after his mother’s death.(EF)

Footnotes

  1. Genesis 24:7 Or seed
  2. Genesis 24:10 That is, Northwest Mesopotamia
  3. Genesis 24:22 That is, about 1/5 ounce or about 5.7 grams
  4. Genesis 24:22 That is, about 4 ounces or about 115 grams
  5. Genesis 24:55 Or she
  6. Genesis 24:63 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.