Add parallel Print Page Options

Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda

17 (A)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
    n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
    ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
(B)N’abaana baabwe basinziza
    ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
    era ne ku busozi obuwanvu.
(C)Olusozi lwange oluli mu nsi,
    obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
    n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
    olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
(D)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
    ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
    ogunaayakanga emirembe gyonna.”

(E)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
    era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
    era alina omutima oguva ku Katonda.
(F)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
    ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
    ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.

(G)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
    nga Mukama ly’essuubi lye.
(H)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
    ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
    n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
    era teguliremwa kubala bibala.
(I)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

10 (J)“Nze Mukama nkebera omutima,
    ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
    ng’ebikolwa bye bwe biri.”

11 (K)Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
    bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
    bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.

12 (L)Ekifo kyaffe ekitukuvu,
    ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 (M)Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
    bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
    kubanga bavudde ku Mukama,
    oluzzi olw’amazzi amalamu.

14 (N)Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
    ndokola nange nnaalokoka,
    kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 (O)Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
    “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
    Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
    omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
    Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 (P)Toba wa ntiisa gye ndi,
    ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 (Q)Abo abanjigganya leka baswale,
    era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
    nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
    bazikiririze ddala.

Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu

19 (R)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (S)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (T)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (U)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (V)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (W)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (X)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (Y)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

17 “Judah’s sin is engraved with an iron tool,(A)
    inscribed with a flint point,
on the tablets of their hearts(B)
    and on the horns(C) of their altars.
Even their children remember
    their altars and Asherah poles[a](D)
beside the spreading trees
    and on the high hills.(E)
My mountain in the land
    and your[b] wealth and all your treasures
I will give away as plunder,(F)
    together with your high places,(G)
    because of sin throughout your country.(H)
Through your own fault you will lose
    the inheritance(I) I gave you.
I will enslave you to your enemies(J)
    in a land(K) you do not know,
for you have kindled my anger,
    and it will burn(L) forever.”

This is what the Lord says:

“Cursed is the one who trusts in man,(M)
    who draws strength from mere flesh
    and whose heart turns away from the Lord.(N)
That person will be like a bush in the wastelands;
    they will not see prosperity when it comes.
They will dwell in the parched places(O) of the desert,
    in a salt(P) land where no one lives.

“But blessed(Q) is the one who trusts(R) in the Lord,
    whose confidence is in him.
They will be like a tree planted by the water
    that sends out its roots by the stream.(S)
It does not fear when heat comes;
    its leaves are always green.
It has no worries in a year of drought(T)
    and never fails to bear fruit.”(U)

The heart(V) is deceitful above all things
    and beyond cure.
    Who can understand it?

10 “I the Lord search the heart(W)
    and examine the mind,(X)
to reward(Y) each person according to their conduct,
    according to what their deeds deserve.”(Z)

11 Like a partridge that hatches eggs it did not lay
    are those who gain riches by unjust means.
When their lives are half gone, their riches will desert them,
    and in the end they will prove to be fools.(AA)

12 A glorious throne,(AB) exalted from the beginning,
    is the place of our sanctuary.
13 Lord, you are the hope(AC) of Israel;
    all who forsake(AD) you will be put to shame.
Those who turn away from you will be written in the dust(AE)
    because they have forsaken the Lord,
    the spring of living water.(AF)

14 Heal me, Lord, and I will be healed;(AG)
    save(AH) me and I will be saved,
    for you are the one I praise.(AI)
15 They keep saying to me,
    “Where is the word of the Lord?
    Let it now be fulfilled!”(AJ)
16 I have not run away from being your shepherd;
    you know I have not desired the day of despair.
    What passes my lips(AK) is open before you.
17 Do not be a terror(AL) to me;
    you are my refuge(AM) in the day of disaster.(AN)
18 Let my persecutors be put to shame,
    but keep me from shame;
let them be terrified,
    but keep me from terror.
Bring on them the day of disaster;
    destroy them with double destruction.(AO)

Keeping the Sabbath Day Holy

19 This is what the Lord said to me: “Go and stand at the Gate of the People,[c] through which the kings of Judah go in and out; stand also at all the other gates of Jerusalem.(AP) 20 Say to them, ‘Hear the word of the Lord, you kings of Judah and all people of Judah and everyone living in Jerusalem(AQ) who come through these gates.(AR) 21 This is what the Lord says: Be careful not to carry a load on the Sabbath(AS) day or bring it through the gates of Jerusalem. 22 Do not bring a load out of your houses or do any work on the Sabbath, but keep the Sabbath day holy, as I commanded your ancestors.(AT) 23 Yet they did not listen or pay attention;(AU) they were stiff-necked(AV) and would not listen or respond to discipline.(AW) 24 But if you are careful to obey me, declares the Lord, and bring no load through the gates of this city on the Sabbath, but keep the Sabbath day holy(AX) by not doing any work on it, 25 then kings who sit on David’s throne(AY) will come through the gates of this city with their officials. They and their officials will come riding in chariots and on horses, accompanied by the men of Judah and those living in Jerusalem, and this city will be inhabited forever.(AZ) 26 People will come from the towns of Judah and the villages around Jerusalem, from the territory of Benjamin and the western foothills, from the hill country and the Negev,(BA) bringing burnt offerings and sacrifices, grain offerings and incense, and bringing thank offerings to the house of the Lord. 27 But if you do not obey(BB) me to keep the Sabbath(BC) day holy by not carrying any load as you come through the gates of Jerusalem on the Sabbath day, then I will kindle an unquenchable fire(BD) in the gates of Jerusalem that will consume her fortresses.’”(BE)

Footnotes

  1. Jeremiah 17:2 That is, wooden symbols of the goddess Asherah
  2. Jeremiah 17:3 Or hills / and the mountains of the land. / Your
  3. Jeremiah 17:19 Or Army