Add parallel Print Page Options

(A)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

Read full chapter

(A)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

Read full chapter

“Baweereddwa omukisa,
    abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe,
    ne baggyibwako ebibi byabwe.
(A)Aweereddwa omukisa omuntu,
    Mukama gw’atalibalira kibi.”

Read full chapter

(A)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
    entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
    busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
    olw’ebibi bye byonna.

Read full chapter

20 (A)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.

Read full chapter

45 (A)Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe.

Read full chapter

46 (A)Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”

Read full chapter

18 (A)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.

Read full chapter

Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
    abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
    nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.

Read full chapter

15 (A)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
    Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (B)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (C)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (D)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

Read full chapter