Add parallel Print Page Options

Amaziya Kabaka wa Yuda

14 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka. Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. (A)Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo. (B)Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe. (C)Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.” (D)Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera[a] mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.

Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.” (E)Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 10 (F)Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”

11 (G)Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 12 (H)Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe. 13 (I)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda. 14 N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya.

Okufa kwa Yekoyaasi

15 (J)Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 16 Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.

Okufa kwa Amaziya

17 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri. 18 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

19 (K)Ne bamusalira olukwe olw’okumuttira mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi. 20 (L)Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi.

21 (M)Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya. 22 (N)Ye yaddaabiriza Erasi era n’azza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa.

Yerobowaamu II Kabaka wa Isirayiri

23 (O)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu. 24 (P)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 25 (Q)Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.

26 (R)Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera. 27 (S)Olw’okubanga Mukama yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi w’eggulu, n’atuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola.

28 (T)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 29 Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Footnotes

  1. 14:7 Seera kiyitibwa Petula mu Luyonaani, era kye kibuga kya Idumiya ekikulu

Amaziah King of Judah(A)(B)

14 In the second year of Jehoash[a] son of Jehoahaz king of Israel, Amaziah son of Joash king of Judah began to reign. He was twenty-five years old when he became king, and he reigned in Jerusalem twenty-nine years. His mother’s name was Jehoaddan; she was from Jerusalem. He did what was right in the eyes of the Lord, but not as his father David had done. In everything he followed the example of his father Joash. The high places,(C) however, were not removed; the people continued to offer sacrifices and burn incense there.

After the kingdom was firmly in his grasp, he executed(D) the officials(E) who had murdered his father the king. Yet he did not put the children of the assassins to death, in accordance with what is written in the Book of the Law(F) of Moses where the Lord commanded: “Parents are not to be put to death for their children, nor children put to death for their parents; each will die for their own sin.”[b](G)

He was the one who defeated ten thousand Edomites in the Valley of Salt(H) and captured Sela(I) in battle, calling it Joktheel, the name it has to this day.

Then Amaziah sent messengers to Jehoash son of Jehoahaz, the son of Jehu, king of Israel, with the challenge: “Come, let us face each other in battle.”

But Jehoash king of Israel replied to Amaziah king of Judah: “A thistle(J) in Lebanon sent a message to a cedar in Lebanon, ‘Give your daughter to my son in marriage.’ Then a wild beast in Lebanon came along and trampled the thistle underfoot. 10 You have indeed defeated Edom and now you are arrogant.(K) Glory in your victory, but stay at home! Why ask for trouble and cause your own downfall and that of Judah also?”

11 Amaziah, however, would not listen, so Jehoash king of Israel attacked. He and Amaziah king of Judah faced each other at Beth Shemesh(L) in Judah. 12 Judah was routed by Israel, and every man fled to his home.(M) 13 Jehoash king of Israel captured Amaziah king of Judah, the son of Joash, the son of Ahaziah, at Beth Shemesh. Then Jehoash went to Jerusalem and broke down the wall(N) of Jerusalem from the Ephraim Gate(O) to the Corner Gate(P)—a section about four hundred cubits long.[c] 14 He took all the gold and silver and all the articles found in the temple of the Lord and in the treasuries of the royal palace. He also took hostages and returned to Samaria.

15 As for the other events of the reign of Jehoash, what he did and his achievements, including his war(Q) against Amaziah king of Judah, are they not written in the book of the annals of the kings of Israel? 16 Jehoash rested with his ancestors and was buried in Samaria with the kings of Israel. And Jeroboam his son succeeded him as king.

17 Amaziah son of Joash king of Judah lived for fifteen years after the death of Jehoash son of Jehoahaz king of Israel. 18 As for the other events of Amaziah’s reign, are they not written in the book of the annals of the kings of Judah?

19 They conspired(R) against him in Jerusalem, and he fled to Lachish,(S) but they sent men after him to Lachish and killed him there. 20 He was brought back by horse(T) and was buried in Jerusalem with his ancestors, in the City of David.

21 Then all the people of Judah took Azariah,[d](U) who was sixteen years old, and made him king in place of his father Amaziah. 22 He was the one who rebuilt Elath(V) and restored it to Judah after Amaziah rested with his ancestors.

Jeroboam II King of Israel

23 In the fifteenth year of Amaziah son of Joash king of Judah, Jeroboam(W) son of Jehoash king of Israel became king in Samaria, and he reigned forty-one years. 24 He did evil in the eyes of the Lord and did not turn away from any of the sins of Jeroboam son of Nebat, which he had caused Israel to commit.(X) 25 He was the one who restored the boundaries of Israel from Lebo Hamath(Y) to the Dead Sea,[e](Z) in accordance with the word of the Lord, the God of Israel, spoken through his servant Jonah(AA) son of Amittai, the prophet from Gath Hepher.

26 The Lord had seen how bitterly everyone in Israel, whether slave or free,(AB) was suffering;[f](AC) there was no one to help them.(AD) 27 And since the Lord had not said he would blot out(AE) the name of Israel from under heaven, he saved(AF) them by the hand of Jeroboam son of Jehoash.

28 As for the other events of Jeroboam’s reign, all he did, and his military achievements, including how he recovered for Israel both Damascus(AG) and Hamath,(AH) which had belonged to Judah, are they not written in the book of the annals(AI) of the kings of Israel? 29 Jeroboam rested with his ancestors, the kings of Israel. And Zechariah his son succeeded him as king.

Footnotes

  1. 2 Kings 14:1 Hebrew Joash, a variant of Jehoash; also in verses 13, 23 and 27
  2. 2 Kings 14:6 Deut. 24:16
  3. 2 Kings 14:13 That is, about 600 feet or about 180 meters
  4. 2 Kings 14:21 Also called Uzziah
  5. 2 Kings 14:25 Hebrew the Sea of the Arabah
  6. 2 Kings 14:26 Or Israel was suffering. They were without a ruler or leader, and