Add parallel Print Page Options

14 (A)Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali.

Read full chapter

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Read full chapter

(A)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti;

Read full chapter

12 (A)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.

Read full chapter

Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya

Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,

Read full chapter

Okubuulirira n’Okusuubiza

10 (A)Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,

Read full chapter

20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti,

Read full chapter

Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:

Read full chapter

Mukama Avumirira Okusiiba okw’Obulimba

(A)Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu.

Read full chapter

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”

(B)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; (C)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”

(D)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (E)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (F)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. (G)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (H)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (I)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”

12 (J)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.

13 (K)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (L)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (M)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.

Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya

Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, (N)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? (O)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (P)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’

(Q)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. (R)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. (S)‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

(A)“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.

10 (B)“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.

Read full chapter