Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
    addemu alonde Isirayiri
    abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
    era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
(B)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

(C)Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, (D)oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:

Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
    Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
(E)Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
    omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
(F)Ogwakubanga olutata
    amawanga n’obusungu,
ogwafugisanga amawanga ekiruyi,
    ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
(G)Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
    era batandise okuyimba.
(H)Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
    nagyo gikuyeeyeereza nti,
“Kasookanga ogwa
    tebangayo ajja kututema.”

(I)Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
    okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
    bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
    bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 (J)Abo bonna balyogera
    ne bakugamba nti,
“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!
    Naawe ofuuse nga ffe!”
11 (K)Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
    awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
    n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.

12 (L)Ng’ogudde okuva mu ggulu,
    ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!
Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,
    ggwe eyamegganga amawanga!
13 (M)Wayogera mu mutima gwo nti,
    “Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
    okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
    ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (N)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
    ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 (O)Naye ossibbwa wansi emagombe,
    ku ntobo y’obunnya.

16 (P)Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
    bakwewuunye nga bagamba nti,
“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,
    ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 (Q)Eyafuula ensi okuba eddungu
    n’asuula ebibuga byayo,
    atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”

18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
    buli omu mu ntaana ye,
19 (R)naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
    ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,
ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,
    abakka eri amayinja g’obunnya;
    ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 (S)Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
    kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;
ezzadde ly’abo abaakola ebibi
    teriryongerwako n’akatono.
21 (T)Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
    olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,
baleme okugolokoka ne balya ensi,
    ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.

22 (U)“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
    “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,
n’omwana n’omuzzukulu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (V)“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
    n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli

24 (W)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,

“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
    bwe kirinywera bwe kityo.
25 (X)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
    era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
    n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

26 (Y)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
    era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (Z)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
    Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?

Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti

28 (AA)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.

29 (AB)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
    kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
    n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 (AC)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
    n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
    ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

31 (AD)Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
    osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
    eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 (AE)Kale kiki kye banaddamu
    ababaka b’eggwanga eryo?
Mukama yassaawo Sayuuni,
    ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

14 The Lord will have compassion(A) on Jacob;
    once again he will choose(B) Israel
    and will settle them in their own land.(C)
Foreigners(D) will join them
    and unite with the descendants of Jacob.
Nations will take them
    and bring(E) them to their own place.
And Israel will take possession of the nations(F)
    and make them male and female servants in the Lord’s land.
They will make captives(G) of their captors
    and rule over their oppressors.(H)

On the day the Lord gives you relief(I) from your suffering and turmoil(J) and from the harsh labor forced on you,(K) you will take up this taunt(L) against the king of Babylon:(M)

How the oppressor(N) has come to an end!
    How his fury[a] has ended!
The Lord has broken the rod(O) of the wicked,(P)
    the scepter(Q) of the rulers,
which in anger struck down peoples(R)
    with unceasing blows,
and in fury subdued(S) nations
    with relentless aggression.(T)
All the lands are at rest and at peace;(U)
    they break into singing.(V)
Even the junipers(W) and the cedars of Lebanon
    gloat over you and say,
“Now that you have been laid low,
    no one comes to cut us down.”(X)

The realm of the dead(Y) below is all astir
    to meet you at your coming;
it rouses the spirits of the departed(Z) to greet you—
    all those who were leaders(AA) in the world;
it makes them rise from their thrones—
    all those who were kings over the nations.(AB)
10 They will all respond,
    they will say to you,
“You also have become weak, as we are;
    you have become like us.”(AC)
11 All your pomp has been brought down to the grave,(AD)
    along with the noise of your harps;(AE)
maggots are spread out beneath you
    and worms(AF) cover you.(AG)

12 How you have fallen(AH) from heaven,
    morning star,(AI) son of the dawn!
You have been cast down to the earth,
    you who once laid low the nations!(AJ)
13 You said in your heart,
    “I will ascend(AK) to the heavens;
I will raise my throne(AL)
    above the stars of God;
I will sit enthroned on the mount of assembly,(AM)
    on the utmost heights(AN) of Mount Zaphon.[b]
14 I will ascend above the tops of the clouds;(AO)
    I will make myself like the Most High.”(AP)
15 But you are brought down(AQ) to the realm of the dead,(AR)
    to the depths(AS) of the pit.(AT)

16 Those who see you stare at you,
    they ponder your fate:(AU)
“Is this the man who shook(AV) the earth
    and made kingdoms tremble,
17 the man who made the world a wilderness,(AW)
    who overthrew(AX) its cities
    and would not let his captives go home?”(AY)

18 All the kings of the nations lie in state,
    each in his own tomb.(AZ)
19 But you are cast out(BA) of your tomb
    like a rejected branch;
you are covered with the slain,(BB)
    with those pierced by the sword,(BC)
    those who descend to the stones of the pit.(BD)
Like a corpse trampled underfoot,
20     you will not join them in burial,(BE)
for you have destroyed your land
    and killed your people.

Let the offspring(BF) of the wicked(BG)
    never be mentioned(BH) again.
21 Prepare a place to slaughter his children(BI)
    for the sins of their ancestors;(BJ)
they are not to rise to inherit the land
    and cover the earth with their cities.

22 “I will rise up(BK) against them,”
    declares the Lord Almighty.
“I will wipe out Babylon’s name(BL) and survivors,
    her offspring and descendants,(BM)
declares the Lord.
23 “I will turn her into a place for owls(BN)
    and into swampland;
I will sweep her with the broom of destruction,(BO)
    declares the Lord Almighty.(BP)

24 The Lord Almighty has sworn,(BQ)

“Surely, as I have planned,(BR) so it will be,
    and as I have purposed, so it will happen.(BS)
25 I will crush the Assyrian(BT) in my land;
    on my mountains I will trample him down.
His yoke(BU) will be taken from my people,
    and his burden removed from their shoulders.(BV)

26 This is the plan(BW) determined for the whole world;
    this is the hand(BX) stretched out over all nations.
27 For the Lord Almighty has purposed,(BY) and who can thwart him?
    His hand(BZ) is stretched out, and who can turn it back?(CA)

A Prophecy Against the Philistines

28 This prophecy(CB) came in the year(CC) King Ahaz(CD) died:

29 Do not rejoice, all you Philistines,(CE)
    that the rod that struck you is broken;
from the root of that snake will spring up a viper,(CF)
    its fruit will be a darting, venomous serpent.(CG)
30 The poorest of the poor will find pasture,
    and the needy(CH) will lie down in safety.(CI)
But your root I will destroy by famine;(CJ)
    it will slay(CK) your survivors.(CL)

31 Wail,(CM) you gate!(CN) Howl, you city!
    Melt away, all you Philistines!(CO)
A cloud of smoke comes from the north,(CP)
    and there is not a straggler in its ranks.(CQ)
32 What answer shall be given
    to the envoys(CR) of that nation?
“The Lord has established Zion,(CS)
    and in her his afflicted people will find refuge.(CT)

Footnotes

  1. Isaiah 14:4 Dead Sea Scrolls, Septuagint and Syriac; the meaning of the word in the Masoretic Text is uncertain.
  2. Isaiah 14:13 Or of the north; Zaphon was the most sacred mountain of the Canaanites.