Add parallel Print Page Options

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

Read full chapter

23 (A)Neerayiridde,
    ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
    so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
    na buli lulimi lulirayira!

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
    Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
    eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
    abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
    oyo akulonze.”

Read full chapter

23 (A)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

Read full chapter

25 (A)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,
    abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

Read full chapter

23 (A)Mukama n’amuddamu nti,

“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
    abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
    era omukulu yaaliweereza omuto.”

Read full chapter

(A)Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.”

Read full chapter

(A)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

Read full chapter

(A)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
    ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?

“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
    n’oyo akukolimira akolimirwenga!”

Read full chapter

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

(A)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
    n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
    ne batiisatiisa ensi yaabwe.

Read full chapter