Add parallel Print Page Options

Babulooni Esalirwa Omusango

47 (A)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
    kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
    ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
    Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
(B)Ddira olubengo ose obutta.
    Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
    oyite mu mazzi.
(C)Obwereere bwo bulibikkulwa;
    obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
    tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

(D)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
    ye Mutukuvu wa Isirayiri.

(E)“Tuula mu kasirise
    yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
    afuga obwakabaka obungi.
(F)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
    ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
    n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
(G)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

(H)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
    ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
    ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
    Siribeera nnamwandu
    wadde okufiirwa abaana.’
(I)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
    eky’okufiirwa abaana
    n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
    newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
    n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (J)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
    n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
    bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (K)Kyokka ensasagge erikujjira
    era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
    akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

12 (L)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
    n’obufumu bwo obwayinga obungi,
    bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
    oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (M)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
    Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
    era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (N)Laba, bali ng’ebisusunku
    era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
    maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
    wadde omuliro ogw’okwota!
15 (O)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
    b’obonyeebonye nabo
    b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
    era tewali n’omu ayinza okukulokola.”