Add parallel Print Page Options

Ekkubo Bonna lye Bakwata

(A)Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. (B)Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,
    era bwe kiri n’eri omwonoonyi;
Nga bwe kiri eri abo abalayira,
    era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

(C)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

(D)Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,
    naye abafu tebaliiko kye bamanyi:
tebakyagasa
    wadde okujjukirwa.
(E)Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,
    n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;
nga tebakyetaba mu ebyo byonna
    ebikolebwa wansi w’enjuba.

(F)Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. (G)Yambalanga engoye ennyonjo[a], era weesiigenga n’ebyakaloosa. (H)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 (I)Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

11 (J)Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
    era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
    wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
    aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12 (K)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
    oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
    ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

13 (L)Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14 waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15 (M)Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16 (N)Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.

17 Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,
    okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.
18 (O)Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,
    naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.

Footnotes

  1. 9:8 Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu.

A Common Destiny for All

So I reflected on all this and concluded that the righteous and the wise and what they do are in God’s hands, but no one knows whether love or hate awaits them.(A) All share a common destiny—the righteous and the wicked, the good and the bad,[a] the clean and the unclean, those who offer sacrifices and those who do not.

As it is with the good,
    so with the sinful;
as it is with those who take oaths,
    so with those who are afraid to take them.(B)

This is the evil in everything that happens under the sun: The same destiny overtakes all.(C) The hearts of people, moreover, are full of evil and there is madness in their hearts while they live,(D) and afterward they join the dead.(E) Anyone who is among the living has hope[b]—even a live dog is better off than a dead lion!

For the living know that they will die,
    but the dead know nothing;(F)
they have no further reward,
    and even their name(G) is forgotten.(H)
Their love, their hate
    and their jealousy have long since vanished;
never again will they have a part
    in anything that happens under the sun.(I)

Go, eat your food with gladness, and drink your wine(J) with a joyful heart,(K) for God has already approved what you do. Always be clothed in white,(L) and always anoint your head with oil. Enjoy life with your wife,(M) whom you love, all the days of this meaningless life that God has given you under the sun—all your meaningless days. For this is your lot(N) in life and in your toilsome labor under the sun. 10 Whatever(O) your hand finds to do, do it with all your might,(P) for in the realm of the dead,(Q) where you are going, there is neither working nor planning nor knowledge nor wisdom.(R)

11 I have seen something else under the sun:

The race is not to the swift
    or the battle to the strong,(S)
nor does food come to the wise(T)
    or wealth to the brilliant
    or favor to the learned;
but time and chance(U) happen to them all.(V)

12 Moreover, no one knows when their hour will come:

As fish are caught in a cruel net,
    or birds are taken in a snare,
so people are trapped by evil times(W)
    that fall unexpectedly upon them.(X)

Wisdom Better Than Folly

13 I also saw under the sun this example of wisdom(Y) that greatly impressed me: 14 There was once a small city with only a few people in it. And a powerful king came against it, surrounded it and built huge siege works against it. 15 Now there lived in that city a man poor but wise, and he saved the city by his wisdom. But nobody remembered that poor man.(Z) 16 So I said, “Wisdom is better than strength.” But the poor man’s wisdom is despised, and his words are no longer heeded.(AA)

17 The quiet words of the wise are more to be heeded
    than the shouts of a ruler of fools.
18 Wisdom(AB) is better than weapons of war,
    but one sinner destroys much good.

Footnotes

  1. Ecclesiastes 9:2 Septuagint (Aquila), Vulgate and Syriac; Hebrew does not have and the bad.
  2. Ecclesiastes 9:4 Or What then is to be chosen? With all who live, there is hope