Add parallel Print Page Options

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

10 (H)Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 (I)kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
    ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 (J)Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
    baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
    era n’abawonya;
14 (K)n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
    n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 (L)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (M)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 (N)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (O)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (P)Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 (Q)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (R)Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (S)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

33 (T)Afuula emigga amalungu,
    n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (U)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
    olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (V)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
    n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
    ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (W)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
    ne bakungula ebibala bingi.
38 (X)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
    n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.

39 (Y)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
    olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (Z)oyo anyooma n’abakungu,
    n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (AA)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
    n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (AB)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
    naye abakola ebibi bo basirika busirisi.

43 (AC)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
    era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.

108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
    nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
    nzija kuyimba okukeesa obudde.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
    nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(AD)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abo booyagala banunulibwe.
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
    “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
    era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(AE)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
    ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
Mowaabu be baweereza bange abawulize;
    ate Edomu be baddu bange;
    Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”

10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (AF)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
    kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

109 (AG)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
    tonsiriikirira.
(AH)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
    banjogeddeko eby’obulimba.
(AI)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
    ne bannumbagana awatali nsonga.
(AJ)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
    kyokka nze mbasabira.
(AK)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
    bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

(AL)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
    wabeewo amuwawaabira.
(AM)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
    n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
(AN)Aleme kuwangaala;
    omuntu omulala amusikire.
(AO)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
    ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
    bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (AP)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
    n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (AQ)Waleme kubaawo amusaasira,
    wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (AR)Ezzadde lye lizikirizibwe,
    n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (AS)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
    n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (AT)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
    n’ensi ebeerabirire ddala.

16 (AU)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
    naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
    n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (AV)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (AW)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
    ne kumutobya ng’amazzi,
    ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
    era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (AX)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
    era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21 (AY)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
    nnwanirira olw’erinnya lyo;
    era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
    n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (AZ)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
    mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (BA)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
    omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (BB)Abandoopaloopa bansekerera;
    bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26 (BC)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
    Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (BD)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
    n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (BE)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
    Leka abannumbagana baswale,
    naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (BF)Abandoopa baswazibwe,
    n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30 (BG)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
    nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31 (BH)Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,
    n’amuwonya abo abaagala afe.

Zabbuli ya Dawudi.

110 (BI)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(BJ)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(BK)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(BL)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(BM)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(BN)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(BO)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.
111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(BP)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(BQ)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(BR)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(BS)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(BT)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(BU)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (BV)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (BW)Mutendereze Mukama![b]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(BX)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(BY)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(BZ)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(CA)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(CB)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(CC)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 (CD)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (CE)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(CF)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(CG)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(CH)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(CI)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(CJ)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(CK)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(CL)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(CM)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!
114 (CN)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(CO)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(CP)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(CQ)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (CR)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

(CS)Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
(CT)Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
(CU)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(CV)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (CW)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (CX)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 (CY)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 (CZ)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 (DA)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (DB)Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (DC)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!
116 (DD)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(DE)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(DF)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(DG)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(DH)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(DI)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(DJ)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(DK)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(DL)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (DM)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (DN)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (DO)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (DP)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (DQ)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (DR)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (DS)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (DT)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
117 (DU)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(DV)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.
118 (DW)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(DX)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(DY)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(DZ)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(EA)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(EB)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(EC)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (ED)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (EE)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (EF)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (EG)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (EH)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (EI)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (EJ)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (EK)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (EL)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (EM)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (EN)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (EO)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (EP)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (EQ)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (ER)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

א Alefu

119 (ES)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(ET)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(EU)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(EV)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (EW)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (EX)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (EY)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (EZ)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (FA)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (FB)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (FC)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (FD)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (FE)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (FF)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (FG)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

ד Daleeti

25 (FH)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
    nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (FI)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
    onjigirize amateeka go.
27 (FJ)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
    nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (FK)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
    onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
    olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
    ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (FL)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
    tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
    nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33 (FM)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (FN)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (FO)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (FP)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (FQ)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
    ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (FR)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
    kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
    kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
    emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
    kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (FS)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
    nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
    era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
    Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (FT)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (FU)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (FV)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (FW)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (FX)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57 (FY)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
    nasuubiza okukugonderanga.
58 (FZ)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
    ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (GA)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
    ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
    so seekunya.
61 (GB)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
    naye seerabirenga mateeka go.
62 (GC)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
    olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (GD)Ntambula n’abo abakutya,
    abo bonna abakwata amateeka go.
64 (GE)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
    onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
    ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
    kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (GF)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
    naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (GG)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
    onjigirize amateeka go.
69 (GH)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
    naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (GI)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
    naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
    ndyoke njige amateeka go.
72 (GJ)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
    okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

י Yoodi

73 (GK)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
    mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (GL)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
    kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (GM)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
    era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
    nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (GN)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
    kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (GO)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
    Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
    abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
    nneme kuswazibwa!

כ Kaafu

81 (GP)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (GQ)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
    ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[c],
    naye seerabira bye walagira.
84 (GR)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
    nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (GS)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
    be bo abatagondera mateeka go.
86 (GT)Amateeka go gonna geesigibwa;
    abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (GU)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
    naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
    ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

ל Lamedi

89 (GV)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
    kya mirembe gyonna.
90 (GW)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
    watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (GX)Amateeka go na buli kati manywevu;
    kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
    nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
    kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
    kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
    naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
    naye amateeka go tegakugirwa.

מ Meemu

97 (GY)Amateeka go nga ngagala nnyo!
    Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (GZ)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
    kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
    kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (HA)Ntegeera okusinga abakadde;
    kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (HB)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
    nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
    kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (HC)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
    Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (HD)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
    kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

נ Nuuni

105 (HE)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
    era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (HF)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
    nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
    nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (HG)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
    era onjigirize amateeka go.
109 (HH)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
    naye seerabira mateeka go.
110 (HI)Abakola ebibi banteze omutego,
    naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
    weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (HJ)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
    ennaku zonna ez’obulamu bwange.

ס Sameki

113 (HK)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
    naye nze njagala amateeka go.
114 (HL)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (HM)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
    mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (HN)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
    nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
    era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
    weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (HO)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
    nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (HP)Nkankana nzenna nga nkutya,
    era ntya amateeka go.

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (HQ)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (HR)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (HS)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (HT)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (HU)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (HV)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (HW)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (HX)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (HY)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (HZ)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (IA)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (IB)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (IC)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137 (ID)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (IE)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (IF)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (IG)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (IH)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (II)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (IJ)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (IK)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (IL)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (IM)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (IN)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (IO)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (IP)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (IQ)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (IR)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (IS)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (IT)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (IU)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (IV)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (IW)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (IX)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (IY)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (IZ)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (JA)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (JB)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (JC)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (JD)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (JE)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (JF)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

120 (JG)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
    era n’annyanukula.
(JH)Omponye, Ayi Mukama,
    emimwa egy’obulimba,
    n’olulimi olw’obukuusa.

Onooweebwa ki,
    era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
(JI)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
    n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

(JJ)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
    nsula mu weema za Kedali!
Ndudde nnyo
    mu bantu abakyawa eddembe.
Nze njagala mirembe,
    naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(JK)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(JL)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(JM)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(JN)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(JO)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
    “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
Ebigere byaffe biyimiridde
    mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba
    ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
Eyo ebika byonna gye biraga,
    ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
    ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
    z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

(JP)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
    “Abo abakwagala bafune ebirungi.
Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
    n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
Olwa baganda bange ne mikwano gyange
    nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
(JQ)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

123 (JR)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
    Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
(JS)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
    n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[d],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
    okutuusa lw’alitusaasira.

Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
    kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
    n’okunyoomebwa ab’amalala.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (JT)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(JU)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(JV)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

125 (JW)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
    olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
(JX)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
    ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
    okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

(JY)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
    mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
    okukola ebibi.

(JZ)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
    bakolere ebirungi.
(KA)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
    Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.

Emirembe gibe ku Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

126 (KB)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
    twafaanana ng’abaloota.
(KC)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
    ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
    Mukama abakoledde ebikulu.”
(KD)Mukama atukoledde ebikulu,
    kyetuvudde tusanyuka.

(KE)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
    tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
(KF)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
    baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Oyo agenda ng’akaaba
    ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
    ng’aleeta ebinywa bye.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (KG)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(KH)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(KI)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(KJ)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (KK)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(KL)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(KM)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(KN)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (KO)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (KP)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(KQ)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(KR)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(KS)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(KT)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[e],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(KU)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (KV)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (KW)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(KX)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(KY)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(KZ)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(LA)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(LB)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(LC)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

131 (LD)Ayi Mukama siri wa malala,
    so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
    newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
(LE)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
    ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
    Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.

(LF)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

(LG)Nga bwe yalayirira Mukama,
    ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
    wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Sirikkiriza tulo kunkwata
    newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
(LH)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
    ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

(LI)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
    ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
(LJ)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
    tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
(LK)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
    ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
(LL)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
    tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11 (LM)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
    ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
    gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (LN)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
    n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
    ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13 (LO)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
    nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (LP)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
    omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (LQ)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
    era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (LR)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
    n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17 (LS)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
    ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (LT)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
    naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (LU)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(LV)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(LW)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

134 (LX)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
    abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
(LY)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
    mutendereze Mukama.

(LZ)Mukama eyakola eggulu n’ensi
    akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
135 (MA)Mutendereze Mukama.

Mutendereze erinnya lya Mukama.
    Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
(MB)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
    mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.

(MC)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
    mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
(MD)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
    ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.

(ME)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
    era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
(MF)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
    mu ggulu ne ku nsi;
    mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
(MG)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
    atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
    n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.

(MH)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
    ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
(MI)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
    eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (MJ)Ye yakuba amawanga amangi,
    n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (MK)Sikoni kabaka w’Abamoli,
    ne Ogi kabaka w’e Basani
    ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (ML)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
    okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.

13 (MM)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
    era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (MN)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
    era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
    ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
    so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
    na buli abyesiga alibifaanana.

19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
    mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
    mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (MO)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
    yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
136 (MP)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(MQ)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Footnotes

  1. 110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.
  2. 112:1 Mu Lwebbulaniya Aleruuya
  3. 119:83 Ensawo ez’eddiba eza wayini atanakaatuuka, zaawanikibwanga waggulu omukka guziyiteko, wayini akaatuuke mangu. Oluvannyuma, ensawo ey’eddiba teyakozesebwanga nate, era yasuulibwanga
  4. 123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe
  5. 129:6 Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya