Add parallel Print Page Options

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
    n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
    era n’ebigere byange okuseerera.
(B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
    bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

Kubanga tebalina kibaluma;
    emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
(C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
    So tebalina kibabonyaabonya.
(D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
    n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
(E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
    balina bingi okusinga bye beetaaga.
(F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
    Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
    n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
    ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
    Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
    bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
    n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
    era buli nkya mbonerezebwa.

15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
    nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
    nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
    ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
    obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
    Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
    era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
    bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
    n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
    ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
    gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
    era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
    Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
    naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
    era ye wange ennaku zonna.

27 (R)Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
    kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 (S)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Zabbuli ya Asafu.

74 (T)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(U)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(V)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(W)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(X)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(Y)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(Z)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (AA)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (AB)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (AC)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (AD)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (AE)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (AF)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (AG)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (AH)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (AI)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (AJ)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (AK)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (AL)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (AM)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (AN)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(AO)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(AP)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(AQ)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(AR)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(AS)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (AT)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(AU)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(AV)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(AW)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(AX)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(AY)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(AZ)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(BA)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (BB)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (BC)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

77 (BD)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
    ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
(BE)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
    ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
    emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

(BF)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
    ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
(BG)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
    ne nzijukira emyaka egyayita.
Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
    ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

(BH)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
    naataddayo kutulaga kisa kye?
(BI)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
    Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
(BJ)Katonda yeerabidde ekisa kye?
    Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 (BK)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
    eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (BL)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
    weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
    nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (BM)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
    era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (BN)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
    abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 (BO)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
    amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
    n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (BP)Ebire byayiwa amazzi
    ne bivaamu n’okubwatuka,
    era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (BQ)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
    okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
    Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (BR)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
    wayita mu mazzi amangi,
    naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 (BS)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
    nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Oluyimba lwa Asafu.

78 (BT)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
    musseeyo omwoyo ku bye njogera.
(BU)Ndyogerera mu ngero,
    njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
(BV)ebintu bye twawulira ne tumanya;
    ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
(BW)Tetuubikisenga baana baabwe,
    naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
    n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
(BX)Yawa Yakobo ebiragiro,
    n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
    babiyigirizenga abaana baabwe,
(BY)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
    n’abaana abalizaalibwa,
    nabo babiyigirize abaana baabwe,
(BZ)balyoke beesigenga Katonda,
    era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
    naye bagonderenga ebiragiro bye.
(CA)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
    omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
    ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

(CB)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
    naye ne badduka mu lutalo,
10 (CC)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
    ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (CD)Beerabira ebyo bye yakola,
    n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (CE)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
    mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (CF)Ennyanja yajaawulamu,
    amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (CG)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
    n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (CH)Yayasa enjazi mu ddungu,
    n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
    n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 (CI)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
    ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (CJ)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
    nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (CK)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
    “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (CL)Weewaawo yakuba olwazi,
    amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
    Anaawa abantu be ennyama?”
21 (CM)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
    omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
    n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (CN)Kubanga tebakkiriza Katonda,
    era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (CO)Naye era n’alagira eggulu;
    n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (CP)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
    Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
    Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (CQ)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
    era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
    n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
    okwetooloola eweema zaabwe.
29 (CR)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
    kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (CS)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
    nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (CT)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
    n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
    abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 (CU)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
    newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (CV)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
    n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (CW)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
    ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (CX)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
    era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (CY)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
    nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (CZ)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
    era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 (DA)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (DB)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 (DC)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (DD)Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (DE)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (DF)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (DG)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 (DH)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (DI)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (DJ)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 (DK)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (DL)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (DM)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (DN)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (DO)Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (DP)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (DQ)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (DR)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (DS)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (DT)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (DU)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (DV)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 (DW)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (DX)N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (DY)naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (DZ)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (EA)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (EB)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Zabbuli ya Asafu.

79 (EC)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(ED)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(EE)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.
(EF)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
    era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

(EG)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
    Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
(EH)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

(EI)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
    tukusaba oyanguwe okutusaasira
    kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
(EJ)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
    olw’erinnya lyo.
10 (EK)Lwaki abamawanga babuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”

Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
    kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
    okozese omukono gwo ogw’amaanyi
    owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (EL)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
    bawalane emirundi musanvu.
13 (EM)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
    tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
    buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (EN)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (EO)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[b]
    ojje otulokole.

(EP)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(EQ)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(ER)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

(ES)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (ET)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (EU)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (EV)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (EW)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (EX)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

81 (EY)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
    muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
(EZ)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
    n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
    era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
    lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
(FA)Yaliteekera Yusufu,
    Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
    gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

(FB)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
    n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
(FC)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
    nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
    ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(FD)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
    Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
(FE)Temubeeranga na katonda mulala,
    wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (FF)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
    Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

11 (FG)“Naye abantu bange tebampuliriza;
    Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (FH)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
    okugoberera ebyo bye baagala.

13 (FI)“Singa abantu bange bampuliriza;
    singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (FJ)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
    ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
    ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (FK)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
    ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”

Zabbuli ya Asafu.

82 (FL)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(FM)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(FN)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(FO)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(FP)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(FQ)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(FR)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (FS)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(FT)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(FU)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(FV)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(FW)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(FX)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(FY)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(FZ)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(GA)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[c] ku mugga Kisoni,
10 (GB)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (GC)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[d]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (GD)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (GE)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (GF)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (GG)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (GH)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (GI)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (GJ)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (GK)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(GL)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(GM)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(GN)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(GO)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(GP)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(GQ)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (GR)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (GS)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (GT)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (GU)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(GV)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(GW)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(GX)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(GY)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(GZ)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(HA)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(HB)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (HC)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (HD)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (HE)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Okusaba kwa Dawudi.

86 (HF)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
    kubanga ndi mwavu atalina kintu.
(HG)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
    Katonda wange, ondokole
    nze omuddu wo akwesiga.
(HH)Onsaasire, Ayi Mukama,
    kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
(HI)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
    kubanga omwoyo gwange
    nguyimusa eyo gy’oli.

(HJ)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
    owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
(HK)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
    kubanga ononnyanukulanga.

(HL)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
(HM)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
    ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
    era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (HN)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
    ggwe wekka ggwe Katonda.

11 (HO)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
    ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
    ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
    erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
    wawonya omwoyo gwange amagombe.

14 (HP)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
    ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
    be bantu abatakufiirako ddala.
15 (HQ)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (HR)Onkyukire, onsaasire,
    ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
    nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
    abalabe bange bakalabe baswale;
    kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (HS)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(HT)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(HU)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(HV)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(HW)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

88 (HX)Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
    nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
    otege okutu kwo nga nkukoowoola.

(HY)Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
    era nsemberedde okufa.
(HZ)Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
    nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
(IA)Bandese wano ng’afudde,
    nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
    era nga tewakyali kya kubakolera.

(IB)Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
    era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
(IC)Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
    ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
(ID)Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
    n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
    (IE)Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
    ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 (IF)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
    Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (IG)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
    n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
    Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 (IH)Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
    buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 (II)Ayi Mukama, onsuulidde ki?
    Onkwekedde ki amaaso go?

15 (IJ)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
    ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
    Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (IK)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
    binsaanikiridde ddala.
18 (IL)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
    nsigazza nzikiza yokka.

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

89 (IM)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
    Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
(IN)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
    n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
Nakola endagaano n’omulonde wange;
    nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
(IO)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
    era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

(IP)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
    Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
(IQ)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
    Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
(IR)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
    era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
(IS)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
    Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
(IT)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
    amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (IU)Lakabu wamubetentera ddala;
    abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (IV)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
    ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (IW)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
    ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14 (IX)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
    Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (IY)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
    Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (IZ)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (JA)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (JB)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
    omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
    okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (JC)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
    ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (JD)Nnaamukulemberanga,
    n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (JE)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
    so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (JF)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
    n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (JG)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
    ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (JH)Alifuga okuva ku migga
    okutuuka ku nnyanja ennene.[e]
26 (JI)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
    ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (JJ)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
    era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (JK)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
    n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (JL)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
    n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
    ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
    ne batagondera mateeka gange,
32 (JM)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
    ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (JN)Naye ssirirekayo kumwagala,
    wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (JO)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
    wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
    n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
    ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

38 (JP)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
    omukyaye era omunyiigidde.
39 (JQ)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
    n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (JR)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
    n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (JS)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
    n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (JT)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
    n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (JU)Wakyusa ekitala kye
    n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
    entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (JV)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
    n’omuswaza.
46 (JW)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
    Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (JX)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
    Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (JY)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
    n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
    kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (JZ)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
    engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (KA)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
    ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.

52 (KB)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!

Footnotes

  1. 78:60 Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza
  2. 80:2 Ebika ebyo ebisatu, bazzukulu ba Lakeeri; baagoberera Essanduuko y’Endagaano nga bakumba okulaga mu nsi ensuubize.
  3. 83:9 Yabini yali kabaka w’Abakanani, ate nga Sisera mutabani we. Yawangulibwa Debola
  4. 83:11 Olebu ne Zeebu baali bakabaka b’Abamidiyaani, Gidyoni be yawangula
  5. 89:25 Ennyanja eyogerwako wano ye ya Meditereniyaani, n’emigga gya Fulaati n’amatabi gaayo. Eyo ye yali ensalo ey’ensi eyasuubizibwa Dawudi ne Sulemaani.