Add parallel Print Page Options

(A)Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

Omwagalwa

(B)Leka annywegere n’emimwa gye
    kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
(C)n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
    erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
    era abawala kyebava bakwagala.
(D)Baako ne gy’ontwala, yanguwa!
    Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.

Abemikwano

Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
    era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.

Omwagalwa

Nga batuufu okukwegomba!

(E)Ndi muddugavu, ndi mulungi,
    Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,[a]
    era ng’entimbe za Sulemaani.
(F)Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
    olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
    ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
    Ennimiro yange ngigayaaliridde.
(G)Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
    ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
    nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?

Abemikwano

(H)Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
    goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
    okumpi n’eweema z’abasumba.

Owoomukwano

(I)Omwagalwa wange,
    nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10 (J)Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
    n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11 Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
    nga birina amapeesa aga ffeeza.

Omwagalwa

12 (K)Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
    akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13 Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli[b] gye ndi,
    ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14 (L)Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera[c]
    ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.[d]

Owoomukwano

15 (M)Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
    oli mubalagavu olabika bulungi.
    Amaaso go mayiba.

Omwagalwa

16 Olabika bulungi muganzi wange,
    era onsanyusa.
    Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

Owoomukwano

17 (N)Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
    n’enzooba zaffe nkanaga.

Footnotes

  1. 1:5 Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu.
  2. 1:13 Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo
  3. 1:14 Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo.
  4. 1:14 Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi.