Add parallel Print Page Options

31 (A)“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.

(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Abantu abawona ekitala
    baliraba ekisa mu ddungu.
    Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”

(C)Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,

“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
    kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
(D)Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
    ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
    ofulume ozine n’abo abasanyuka.
(E)Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
    abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
(F)Walibeerawo olunaku
    abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
    eri Mukama Katonda waffe.’ ”

(G)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
    Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
    “Ayi Mukama, lokola abantu bo,
    abaasigalawo ku Isirayiri.”
(H)Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
    ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
    n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
    era abantu bangi balikomawo.
(I)Balikomawo nga bakaaba,
    balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
    mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
    era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.

10 (J)“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
    mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
    era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 (K)Kubanga Mukama aligula Yakobo
    era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 (L)Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
    balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
    n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
    era tebalyongera kulaba nnaku.
13 (M)Abawala balizina beesiime,
    n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
    ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 (N)Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
    n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
    bw’ayogera Mukama.
15 (O)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
    nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
    era agaanye okusirisibwa,
    kubanga abaana be baweddewo.”

16 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
    n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
    bw’ayogera Mukama.
    Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
    bw’ayogera Mukama.
    Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

18 (Q)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
    ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
    era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
    kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (R)Nga mmaze okubula,
    neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
    ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
    kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 (S)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (T)“Muteeke ebipande ku nguudo;
    muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
    ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
    komawo mu bibuga byo.
22 (U)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
    ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
    omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

23 (V)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 24 (W)Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 25 (X)Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”

26 (Y)Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

27 (Z)“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 28 (AA)Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 29 (AB)“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[a],
    n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”

30 (AC)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

31 (AD)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
    lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
    era n’ennyumba ya Yuda.
32 (AE)Teribeera ng’endagaano eri
    gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
    okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
    wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
    bw’ayogera Mukama.
33 (AF)“Eno y’endagaano gye nnaakola
    n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
    ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
    nabo balibeera bantu bange.
34 (AG)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
    oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
    okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
    bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

35 (AH)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Oyo ateekawo enjuba
    okwaka emisana,
n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja
    amayengo gaayo ne gawuluguma;
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
36 (AI)“Amateeka gano
    nga bwe gavudde mu maaso gange,
n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga
    olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.

37 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa
    n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,
olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri
    olw’ebyo bye bakoze,”
    bw’ayogera Mukama.

38 (AK)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. 39 Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. 40 (AL)Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”

Footnotes

  1. 31:29 emizabbibu gitera okuba nga giwoomerera noolwekyo tukisome nti giwoomerera

31 “At that time,” declares the Lord, “I will be the God(A) of all the families of Israel, and they will be my people.”

This is what the Lord says:

“The people who survive the sword
    will find favor(B) in the wilderness;
    I will come to give rest(C) to Israel.”

The Lord appeared to us in the past,[a] saying:

“I have loved(D) you with an everlasting love;
    I have drawn(E) you with unfailing kindness.
I will build you up again,
    and you, Virgin(F) Israel, will be rebuilt.(G)
Again you will take up your timbrels(H)
    and go out to dance(I) with the joyful.(J)
Again you will plant(K) vineyards
    on the hills of Samaria;(L)
the farmers will plant them
    and enjoy their fruit.(M)
There will be a day when watchmen(N) cry out
    on the hills of Ephraim,
‘Come, let us go up to Zion,
    to the Lord our God.’”(O)

This is what the Lord says:

“Sing(P) with joy for Jacob;
    shout for the foremost(Q) of the nations.
Make your praises heard, and say,
    Lord, save(R) your people,
    the remnant(S) of Israel.’
See, I will bring them from the land of the north(T)
    and gather(U) them from the ends of the earth.
Among them will be the blind(V) and the lame,(W)
    expectant mothers and women in labor;
    a great throng will return.
They will come with weeping;(X)
    they will pray as I bring them back.
I will lead(Y) them beside streams of water(Z)
    on a level(AA) path where they will not stumble,
because I am Israel’s father,(AB)
    and Ephraim is my firstborn son.

10 “Hear the word of the Lord, you nations;
    proclaim it in distant coastlands:(AC)
‘He who scattered(AD) Israel will gather(AE) them
    and will watch over his flock like a shepherd.’(AF)
11 For the Lord will deliver Jacob
    and redeem(AG) them from the hand of those stronger(AH) than they.
12 They will come and shout for joy(AI) on the heights(AJ) of Zion;
    they will rejoice in the bounty(AK) of the Lord
the grain, the new wine and the olive oil,(AL)
    the young of the flocks(AM) and herds.
They will be like a well-watered garden,(AN)
    and they will sorrow(AO) no more.
13 Then young women will dance and be glad,
    young men and old as well.
I will turn their mourning(AP) into gladness;
    I will give them comfort(AQ) and joy(AR) instead of sorrow.
14 I will satisfy(AS) the priests(AT) with abundance,
    and my people will be filled with my bounty,(AU)
declares the Lord.

15 This is what the Lord says:

“A voice is heard in Ramah,(AV)
    mourning and great weeping,
Rachel weeping for her children
    and refusing to be comforted,(AW)
    because they are no more.”(AX)

16 This is what the Lord says:

“Restrain your voice from weeping
    and your eyes from tears,(AY)
for your work will be rewarded,(AZ)
declares the Lord.
    “They will return(BA) from the land of the enemy.
17 So there is hope(BB) for your descendants,”
declares the Lord.
    “Your children(BC) will return to their own land.

18 “I have surely heard Ephraim’s moaning:
    ‘You disciplined(BD) me like an unruly calf,(BE)
    and I have been disciplined.
Restore(BF) me, and I will return,
    because you are the Lord my God.
19 After I strayed,(BG)
    I repented;
after I came to understand,
    I beat(BH) my breast.
I was ashamed(BI) and humiliated
    because I bore the disgrace of my youth.’(BJ)
20 Is not Ephraim my dear son,
    the child(BK) in whom I delight?
Though I often speak against him,
    I still remember(BL) him.
Therefore my heart yearns for him;
    I have great compassion(BM) for him,”
declares the Lord.

21 “Set up road signs;
    put up guideposts.(BN)
Take note of the highway,(BO)
    the road that you take.
Return,(BP) Virgin(BQ) Israel,
    return to your towns.
22 How long will you wander,(BR)
    unfaithful(BS) Daughter Israel?
The Lord will create a new thing(BT) on earth—
    the woman will return to[b](BU) the man.”

23 This is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: “When I bring them back from captivity,[c](BV) the people in the land of Judah and in its towns will once again use these words: ‘The Lord bless(BW) you, you prosperous city,(BX) you sacred mountain.’(BY) 24 People will live(BZ) together in Judah and all its towns—farmers and those who move about with their flocks.(CA) 25 I will refresh the weary(CB) and satisfy the faint.”(CC)

26 At this I awoke(CD) and looked around. My sleep had been pleasant to me.

27 “The days are coming,”(CE) declares the Lord, “when I will plant(CF) the kingdoms of Israel and Judah with the offspring of people and of animals. 28 Just as I watched(CG) over them to uproot(CH) and tear down, and to overthrow, destroy and bring disaster,(CI) so I will watch over them to build and to plant,”(CJ) declares the Lord. 29 “In those days people will no longer say,

‘The parents(CK) have eaten sour grapes,
    and the children’s teeth are set on edge.’(CL)

30 Instead, everyone will die for their own sin;(CM) whoever eats sour grapes—their own teeth will be set on edge.

31 “The days are coming,” declares the Lord,
    “when I will make a new covenant(CN)
with the people of Israel
    and with the people of Judah.
32 It will not be like the covenant(CO)
    I made with their ancestors(CP)
when I took them by the hand
    to lead them out of Egypt,(CQ)
because they broke my covenant,
    though I was a husband(CR) to[d] them,[e]
declares the Lord.
33 “This is the covenant I will make with the people of Israel
    after that time,” declares the Lord.
“I will put my law in their minds(CS)
    and write it on their hearts.(CT)
I will be their God,
    and they will be my people.(CU)
34 No longer will they teach(CV) their neighbor,
    or say to one another, ‘Know the Lord,’
because they will all know(CW) me,
    from the least of them to the greatest,”
declares the Lord.
“For I will forgive(CX) their wickedness
    and will remember their sins(CY) no more.”

35 This is what the Lord says,

he who appoints(CZ) the sun
    to shine by day,
who decrees the moon and stars
    to shine by night,(DA)
who stirs up the sea(DB)
    so that its waves roar(DC)
    the Lord Almighty is his name:(DD)
36 “Only if these decrees(DE) vanish from my sight,”
    declares the Lord,
“will Israel(DF) ever cease
    being a nation before me.”

37 This is what the Lord says:

“Only if the heavens above can be measured(DG)
    and the foundations of the earth below be searched out
will I reject(DH) all the descendants of Israel
    because of all they have done,”
declares the Lord.

38 “The days are coming,” declares the Lord, “when this city will be rebuilt(DI) for me from the Tower of Hananel(DJ) to the Corner Gate.(DK) 39 The measuring line(DL) will stretch from there straight to the hill of Gareb and then turn to Goah. 40 The whole valley(DM) where dead bodies(DN) and ashes are thrown, and all the terraces out to the Kidron Valley(DO) on the east as far as the corner of the Horse Gate,(DP) will be holy(DQ) to the Lord. The city will never again be uprooted or demolished.”

Footnotes

  1. Jeremiah 31:3 Or Lord has appeared to us from afar
  2. Jeremiah 31:22 Or will protect
  3. Jeremiah 31:23 Or I restore their fortunes
  4. Jeremiah 31:32 Hebrew; Septuagint and Syriac / and I turned away from
  5. Jeremiah 31:32 Or was their master